Proverbs 25

Engero Endala Eza Sulemaani

1 aZino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.

2 bOkukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.

3Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.

4Effeeza giggyeemu ebisejja,
olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
5 cGgyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.

6Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
7 dKubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.

8 eAmaaso go bye galabye
tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga,
kubanga oluvannyuma onookola otya
munno bw’anaakuswaza?

9Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10akiwulira aleme okukuswaza;
n’onyoomebwa ebbanga lyonna.

11 fEkigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.

12 gNg’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.

13 hNg’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma,
aweweeza emmeeme ya bakama be.

14Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.

Muliraanwa n’Omulabe


15 iOkugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

16 jBw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.

18 kOmuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.

19Okwesiga omuntu ateesigika,
kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.

20Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.

21Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 lKubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
era Mukama alikuwa empeera.

23Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.

24 mOkusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.

25 nNg’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.

26Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.

27 oSi kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.

28Omuntu ateefuga
ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.
Copyright information for LugEEEE